Amazima ge tujulira ye Mukama waffe Yesu Kristo gwe twayitibwa okufaanana mu bulamu bwaffe era buli ky’amazima kyonna ekitusomesebwa tukikola kubanga Omwoyo w’Amazima atuula mu ffe olw’okukkiriza Mukama waffe Yesu Kristo. Kino kifuula obulamu bwaffe obw’enjawulo ne tusobola okujulira amazima omuli n’okukola obulungi ab’oluganda.