
Sign up to save your podcasts
Or


Enono z’Okukula mu Mwoyo
Abaefeso 4:21–24 etulaga enono ssatu ezikulu ez’okukula kw’Omukulisitaayo: okweyambulako omuntu ow’edda, okufuulibwa abaggya mu ndowooza yaffe, n’okwambala omuntu omuggya eyatondebwa mu Kristo. Essomo lino liraga engeri amazima ga Katonda gye gakyusa endowooza, empisa, n’obulamu bwaffe buli lunaku.
Spiritual Growth Principles
Ephesians 4:21–24 presents three essential principles of Christian growth: putting off the old self, being renewed in the mind, and putting on the new self created in Christ. This bilingual message explains how God’s truth reshapes our thinking, conduct, and daily life.
Bilingual: Luganda and English.
Watch the bilingual video and access related Bible-study resources.
Obujulizi okuva mu Uganda
Abantu abaali mu kutendekebwa mu Uganda bagabana obujulizi ku ngeri amazima ga Baibuli n’amasomo g’obuyigirizwa gye byabakwatako mu bulamu bwabwe ne mu buweereza. Obujulizi buno bulaga omugaso gw’okutegeera Okukulukuta n’okukozesa enono z’okukula kw’omwoyo mu bantu n’omu makanisa.
Uganda Testimonies
Participants in Uganda share testimonies about how the Bible truths and discipleship training affected their lives and ministries. Their stories illustrate the practical value of understanding The Flow and applying principles of spiritual growth in individuals and churches.
Bilingual: Luganda and English.
Visit the complete D1 bilingual training index.
Omukkiriza Omuto n’Omuwanguzi
Omukkiriza omuto ayetaaga okukula mu Kigambo kya Katonda, okuyiga okwesiga Mukama, n’okuwangula okukemebwa. Essomo lino litunuulira emitendera gy’omuvubuka ow’omwoyo n’omuntu omukulu mu kukkiriza, nga liraga engeri amazima, obuwulize, n’okuweereza gye bitwala omukkiriza mu bukulu n’okubala ebibala.
Young Believers and Spiritual Overcomers
A young believer must become strong in God’s Word, learn to trust the Lord, and overcome temptation. This lesson examines the stages of the spiritual young person and the mature spiritual parent, showing how truth, obedience, and service lead Christians toward maturity and fruitful ministry.
Bilingual: Luganda and English.
Watch the bilingual video and access study resources.
Omukkiriza Omupya
Katonda y’atandika okukula mu mwoyo, era omukkiriza omupya alinga omwana omuwere alina ebyetaago eby’enjawulo. Ayetaaga emmere ey’omwoyo okuva mu Kigambo kya Katonda, okuwummula mu kisa kye, okulabirirwa, n’okwagala. Essomo lino liyamba abakulembeze n’abakkiriza abakulu okumanya engeri y’okulabirira omukkiriza omupya asobole okukula obulungi.
Caring for the New Believer
God begins spiritual life, and a new believer resembles an infant with special needs. New Christians need the nourishment of God’s Word, rest in His grace, attentive care, and love. This lesson equips leaders and mature believers to nurture new Christians so that they establish healthy foundations and continue growing in Christ.
Bilingual: Luganda and English.
Watch the bilingual video and access study resources.
Okutunulira Okukulukuta
Amasomo gano agatendeka gayamba omuntu okw’anjura Okukulukuta eri omulala mu bigambo ebitegeerekeka era ebyangu okukozesa. Essomo lituyamba okuzuula omukkiriza wa w’ali mu bulamu bwe obw’Ekikulisitaayo, okumanya ebyetaago bye, n’okumulungamya mu kkubo ery’okukula obulungi. Ekigendererwa si kumala kuwa mawulire, wabula okuyamba abantu okukula n’okuyamba abalala okukula.
The Flow Overview
This overview introduces The Flow as a practical framework for Christian growth. It helps listeners identify a believer’s present stage, understand the needs associated with that stage, and give wise guidance for continued maturity. The goal is not merely to transfer information but to help Christians grow and equip them to disciple others.
Bilingual: Luganda and English.
Watch the bilingual video and access study resources.
Eby’okuddamu mu Bulamu
Yobu 1 etuyigiriza nti obuwanguzi obw’amazima tebupimibwa na bintu eby’ebweru byokka. Obulamu obw’omunda bwe bufugibwa Katonda n’ebigendererwa bye, omuntu atambula mu makubo ge era n’alaba ebintu bye ng’emikisa egyava mu mukono gwa Katonda. Essomo lino lituyamba okutegeera obwesigwa, okutya Katonda, n’obugumiikiriza mu kugezesebwa.
Answers for Life
Job 1 teaches that genuine success is not measured merely by outward possessions or circumstances. When the inner life is governed by God and His purposes, a person walks in His ways and receives possessions as blessings from His hand. This message explores faithfulness, the fear of God, and endurance under testing.
Bilingual: Luganda and English.
Watch the bilingual video and access related Bible-study resources.
Ensonga Enkulu ez’Okusonyiwa
Olubereberye 50 n’obulamu bwa Yusufu bituyigiriza engeri y’okusonyiwa, ne bwe tuba nga twakosebwa nnyo. Essomo lino likwata ku busungu, obukaawu, okwesasuza, n’okuddamu okwesiga Katonda. Lituyamba okulaba nti okusonyiwa si kwetwala nga tewali kibi kyakolebwa, wabula kwe kuleka omusango mu mikono gya Katonda n’okufuna eddembe mu mutima.
Essentials of Forgiveness
Genesis 50 and the life of Joseph show how to forgive even when the injury is deep. This lesson addresses anger, bitterness, revenge, and renewed trust in God. Forgiveness does not pretend that wrong is harmless; it places judgment in God’s hands and opens the heart to freedom and healing.
Bilingual: Luganda and English.
Watch the bilingual video and access related Bible-study resources.
From the publisher's feed