Bamalayika mu Ggulu basanyuka nnyo
Nga Batendereza, Bakuba ennanga empya
Bayimba; Aleruuya, Bafuuwa amakondeere
Olw'omuntu omu akkirizza okwenenya
Ggwe taata wange, atannaba n'okukkiriza
Ky'ekiseera okkirize okwenenya,
Osembeze Yesu, afuge obulamu bwo
Emigugu gywe weetisse Agitikkule
Ggwe muganda wange, atannaba n'okukkiriza
Ky'ekiseera okkirize okwenenya,
Osembeze Yesu, afuge obulamu bwo
Emigugu gywe weetisse Agitikkule